Isaaya - Essuula 12

123456789101112131415161718192021222324252627282930313233343536373839404142434445464748495051525354555657585960616263646566
← Eddako Ekiddako →
1 Era ku lunaku luli olyogera nti Naakwebaza, ai Mukama; kubanga newakubadde nga wansunguwalira, obusungu bwo bukyuse, era onsanyusa.
2 Laba, Katonda bwe bulokozi bwange; nneesiganga ne ssitya: kubanga Mukama Yakuwa ge maanyi gange n'oluyimba; era ye afuuse obulokozi bwange.
3 Kyemunaavanga musenanga n'essanyu amazzi mu nzizi ez'obulokozi.
4 Era ku lunaku luli mulyogera nti Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye, mubuulire ebikolwa bye mu mawanga, mwogere erinnya lye ligulumizibwe.
5 Mumuyimbire Mukama; kubanga akoze eby'ekitiibwa: ekyo kimanyibwe mu nsi yonna.
6 Yogerera waggulu oleekaane, ggwe atuula mu Sayuuni: kubanga Omutukuvu owa Isiraeri ali wakati mu ggwe mukulu.
← Ddayo ku lukalala